Endagaano Kabaka Mwanga gye yakola n’Abangereza yamufuukira ekyambika |
![]() |
|
Nga tugenda mu maaso n’okulaba engeri Abangereza gye baatandikamu okufuga Uganda, omuwandiisi waffe TIMOTHY NTANDA LUKABI, akunyumiza engeri Ssekabaka Mwanga II gye yakolamu endagaano y’okukuuma Buganda ate oluvannyuma n’alwanyisa Abazungu ne batuuka n’okumuwangangusa. Kabaka Mwanga ng’atebenkedde ku Namulondo, nga 26 Ntenvu 1890 yakola ne Capt. Lugard owa Imperial British East Africa Company endagaano ng’emuwa obuyinza okukola ku by’obusuubuzi, okuddukanya emirimu gya gavumenti n’okulamula emisango. Omwaka ogwaddirira nga 27 Muwakanya 1894, Kabaka Mwanga yakkiriza Buganda okutandika okukuumibwa Bungereza. Wabula oluvannyuma Mwanga yejjusa ng’endagaano ze yakola ne Bungereza zimufuukidde ekyambika; anti Abangereza baakwata amasanga ge yali aweerezza okutunda ne bamulagira n’okusasula omutango gwa lupiiya 3,000. Kino kyanyiiza nnyo Abaganda ne balaba ng’Abazungu be baali basabye obukuumi ate batandise okubalinnya ku mitwe. Ekikolwa kino kyanyiiza nnyo Mwanga II eyalaba ng’obuyinza bwe bwonna butwaliddwa era n’ateekateeka okutandika okulwanyisa Abangereza. Mu bbanga ttono yali akungaanyizza emmundu ezaali zisoba mu 2,000. Ab’olugambo baayanguwa okubuulira Abangereza ku nteekateeka za Mwanga kyokka ne basooka okuzitwala ng’ezoolusaago. Kyokka oluvannyuma gavana eyaliwo mu kiseera ekyo yayita Mwanga agende e Ntebbe babeeko bye bateesa. Mwanga yakimanya nti luno lwali lukwe lwa kumukwata era n’agaana okugenda e Ntebbe. Mu kiro ekyakeesa 6 Kasambula, Mwanga lwe yalangirira olutalo, waaliwo okutulisa amasasi mu lubiri e Mengo agaali galangirira olutalo era enkeera n’akwata amaato ge; Mbaliga ne Wasswa n’asaabala ne yeesogga Buddu. Eno gye yali ateeseteese amagye ge era ne gatandika okulumba kyokka oluvannyuma nga 20 Kasambula n’awangulwa n’addukira mu Germany East Africa, kati eyitibwa Tanzania ne yeekukuma eyo. Oluvannyuma yakwatibwa n’aggalirwa e Bukoba era ng’ali eyo, Abangereza baamusalira omusango era ne balagira awangangusibwe nga 9 Muwakanya 1897. Mu ngeri ey’ekyewuunyo, Mwanga yatoloka n’akomawo mu Buganda mu ssaza lye ery’e Buddu n’asinziira ku lusozi Kabuwoko, emmundu ne zivuga kyokka omuzinga gwe yali aggye e Tanzania ne gwesiba, ekyatuusa eggye lye okuwangulwa nga 15 Gatonnya 1898. Yeegatta n’Omukama Kabalega owa Bunyoro ne baddukira mu bitundu by’e Lango era eyo gye yakwatirwa mu Kafuumuulampawu wa 1899 n’awangangusibwa mu bizinga by’e Seychelles. Mwanga yakisa omukono mu 1903 nga wa myaka 35 n’oluvannyuma enjole ye n’ekomezebwawo n’eziikibwa mu masiro e Kasubi mu 1910. |
