Untitled Document

Okusengula abeesenza ku nnyanja ya Kabaka kutabudde abakungu b’e Mengo

Wabaluseewo obutakkaanya mu bakungu b’e Mengo nga buvudde ku nteekateeka eyakoleddwa abavubuka ba BANGAWA okusengula abantu abeesenza ku ttaka okuli ennyanja ya Kabaka mu Ndeeba ne bazimbako amayumba n’obutale.


Mmeeya wa munisipaali y’e Lubaga, Owek. Joyce Nabbosa Ssebuggwawo n’abavubuka ba BANGAWA be bawomye omutwe mu nteekateeka y’okugoba abantu bano nga bagamba nti Mengo yabakwasa obuvunaanyizibwa bw’okulabirira ekifo awali ennyanja eno.


Ssentebe wa BANGAWA, Ddirisa Sseruwagi agamba nti baasazeewo okusengula abantu bano nga balaba ennyanja ya Beene efuuse ekitagasa, nga buli kazambi ava mu maka g’abatuuze aggweera mu nnyanja ate nga n’ekifo kyennyini kimaamiddwa abantu abatalina biwandiiko bituufu bibakkiriza kubeerawo.


Owek. Joyce Ssebuggwawo yategeezezza olupapula lwa Eddoboozi nti abavubuka ba BANGAWA baaweebwa ebbaluwa okuva e Mengo, ebawa obuvunaanyizibwa obujjuvu okulabirira ennyanja y’Obwakabaka n’ebintu ebirala byonna ebigyetoolodde.


 Wabula minisita w’e Mengo ow’obutonde bw’ensi, obulunzi  n’obuvubi, Owek. Edward Lutaaya Mukomazi bwe yatuukiriddwa Eddoboozi yagambye nti talina ky’amanyi ku kusengulwa kw’abantu bano, n’awakanya ebyayogeddwa Muky. Ssebuggwawo nti abavubuka ba BANGAWA baaweebwa obuyinza obwenkomeredde ku nnyanja ya Kabaka.


Omwogezi w’ekitongole kya Buganda Land Board ekirabirira ettaka ly’Obwakabaka, Saul Katumba naye yagambye nti, “Sikimanyiiko nti abantu abo baagobwa ku nnyanja ya Kabaka era sirowooza nti kituufu.”


Ye minisita w’ebyobulambuzi e Mengo, Owek. Nakiwala Kiyingi yagambye nti, “Ebintu by’ennyanja eyo tebitegeerekeka, nze nfubye okubaako kyenkola naye ng’abakungu abalala abagirinako obuvunaanyizibwa be bannemesa okutuusa lwe nabivaako era kati eri wansi wa Mw. Ssewava, Ssaabasajja gwe yalonda okukulira Lubiri Development Committee.”


Kyokka Mw. Ssewava tetwasobodde kumufuna ng’essimu ye teriiko.


Kigambibwa nti abamu ku bakungu b’e Mengo baasenza abantu mu bukyamu ku ttaka okuli ennyanja kyokka Owek. Lutaaya Mukomazi akiwakanyizza n’agamba nti, “Bwe wabaayo omuntu yenna agamba nti waliwo omukungu w’e Mengo eyamuguza yeesowoleyo.


 Nze nina obuyinza okulaba ng’ettaka n’ekifo awali ennyanja eno biri mu mbeera nnungi era nkituukiriza. Tewali muntu mulala yenna alina buyinza okuggyako nze,” Owek. Lutaaya Mukomazi bwe yagambye.


Abantu bye boogera


Omulongo Wasswa, omu ku balabirira ennyanja eno


 Kyamazima abantu bangi babadde beegumbulidde okwesenza ku ttaka lya Kabaka nga bajingirira ebiwandiiko ebitali bituufu ne banyaga ettaka ng’abamu babadde batandise okuteekako amalundiro g’ebisolo byabwe.


 


Khasifa Namukasa - mutuuze mu Kayanja zooni


 Buli muntu amanyi nga bwe yajja, si kyangu okwesenza nga tewali kalandira konna. Ffe twasenga wano mu 1972, wenzaalidde n’abaana bange bonna olwo n’ompita omusenze? 


Kamulegeya Ashadu - omuwandiisi wa LC1 Kayanja zooni


 Wasooke wabeewo enteeseganya wakati wa nannyini ttaka n’omusenze  oba bwe baba bagoba basasulwe naddala abo abali mu makubo amatuufu.


Kasumba Henry


Abayoleza emmotoka ku nnyanja ya Kabaka ffe twakola endagaano ne Mengo, ekiseera n’ebbanga bye tulina okukolerako emirimu gyaffe era tusasula.


Namande Hadijah - akolera ku nnyanja


  Ffe okuva lwe baatumenya  tubonaabona kubanga we tubadde tuggya ekikumi ekiriisa abaana  batugobyewo.


Sali Paul - mutuuze mu Kayanja zooni 


Si kyangu okusengula omusenze amaze emyaka egisukka 20 mu kibanja nga tasasuddwa. Tusaba tusigale mu bibanja byaffe.


Ssendi John - mutuuze mu Ndeeba Tuwagira abavubuka ba BANGAWA  omulimu omunene gwe bakoze okulaba ng’ekifo awali ennyanja ya Kabaka kirongooka kuba ebadde yafuuka nsiko.


Tamale Christopher - ssentebe wa Sipaya zooni okumpi n’ennyanja


Ettaka eryetooloddwa ennyanja ya Kabaka si lyonna nti lya Kabaka, wabula waliwo n’eryobwannannyini. Ekirina okukolebwa be bannannyini ttaka okusisinkana ne batema empenda ne basimba n’amayinja agaawula ebitundu bino, kiyambe okumalawo enkaayana n’abantu emitima okubeewanika.


Kasirye Deo


Ffe kitwennyamiza okulaba ng’ettaka  okuli ennyanja ya Kabaka limaamiddwa abalunzi b’ente abajja beesenza empola ne litwalibwa mu lukujjukujju nga n’abamu ku bakungu b’e Mengo batunula.


MUTEBI RONALD

Untitled Document
Essomeddwa Emilundi 205 205 Ebirowoozo 0 0
Tewali Birowoozo Ku Mutwe Guno !!


Ekirowoozo Kyo !

Omutwe
Ekirowoozo
A value is required.Minimum number of characters not met.
 

 

 

Untitled Document

Maapu