Ebyantuukako mu kkomera sibyejjusa olwakunsibira ebya Kabaka - Nsubuga |
![]() |
|
Kamada Nsubuga Masagazi agambye nti ebyamutuukirako mu kkomera e Luzira gy’amaze ebbanga eddene, ne banne bwe baakwatibwa ne baggulwako emisango gy’obutujju oluvannyuma lwa gavumenti okugaana Kabaka okugenda e Bugerere, tabyejjusa kubanga baamusibira kwagala Kabaka we. Bwe nali nva mu kibuga okununula emmotoka yange, bwe natuuka ku poliisi okwogera nabo twakkaanya ensimbi y’okuginunula naye bwe baalaba ng’ensimbi nina nnyingi ne bagamba nti nina ne ssente nnyingi omwali n’ezitaali za Uganda, ne bagezaako okuzinzibako era bwe nabalemesa ne banzigalira ne ssente zange ne bazinzigyako ne bansiba ng’eno okwekalakaasa kugenda mu maaso. Bwe zaatuuka ku ssaawa nga kkumi, poliisi ne bajookya olwo ne batuyimbula kubanga omukka gwali gwamaanyi munda. Olwokuba nze baali bankubye nnyo, nali sisobola kutambula olwo abantu bange ne bansitula. Oluvannyuma lw’ennaku, poliisi yagenda gye nali ntereka ebyuma byange ne bagamba nti byebimu ku byabbiddwa ku poliisi era bwe nagezaako okubinunula ne nkwatibwa nga bannanga kuduumira abantu abaayokya poliisi. Ekiro bantwala e Makindye ne batukweka okumala ennaku kkumi, nga mu zo baatuwaamu akawunga omulundi gumu. Oluvannyuma baatutwala e Kibuye gye batuggya okututwala e Luzira. E Luzira tubadde tusosolwa olwokuba tuli Baganda era ng’abamu babadde batulangira nti “Abaganda muli baalugezigezi kamulabe okwepanka okwo.” Ssejjusa ku byonna ebintuuseeko era singa naliwo nange nandyekalakaasizza ng’abalala kubanga omusajja bw’akuba kitaawo oluyi nga wooli n’otamwanukula n’enkya akomawo n’amujooga, naye bw’omwanukula atyamu. Kale bannayuganda kye baakola okwekalakaasa nga gavumenti egaanye Kabaka okugenda e Bugerere kyansanyusa nnyo kubanga bw’onakkiriza ne bajolonga Kabaka wo ng’olaba, bayinza okugamba enkya nti tumuggyeko ettaka, nga bwe munaakigaana nga kitwalibwa mu kalulu k’ekikungo. Obulamu bw’ebweru oluvannyuma lw’ekkomera si bwangu kubanga buli kimu nkisanze kyasaanawo, emirimu gyange gyasaanawo, O.C Lauben Wasiima yabba emmotoka yange G.Touring UAH/L ate endala yavundira ku poliisi e Nateete. Jesero Livingstone “Bwe natuuka e luzira ne ndokoka okusobola okusonyiwa abansibisiza obwereere” Wadde nga yabonaabonera nnyo mu kkomera e Luzira n’okutuuka okufuna obulwadde bw’amabwa mu lubuto obutakyamusobozesa kweyagalira mu bulamu bwe, Jesero Livingstone eyawonera awatono okufiira mu kkomera agambye, nti yasonyiwa abantu b’oku kyalo abaamulinako empalana ne bamusibisa nga bamuwaayiriza nti y’omu ku baayokya poliisi y’e Nateete mu kwekalakaasa kwa 2009. Jesero eyategeezezza Eddoboozi nti yatikkiddwa emirundi ebiri mu by’okubuulira enjiri ng’akyali mu kkomera, ekyokusonyiwa abamuwaayiriza yakyesigamya ku bulokozi n’asalawo okukwasa Katonda ebizibu bye. Nakwatibwa nga 14/09/2009 nga nali nva kugulira baana bange bintu, abasajja ne banneekiika mu maaso ne baŋŋamba nti, “Y’ono Jesero era ye ssentebe.” Ne babuuza muŋŋamba ki? Nali mmanyiiko abantu bana era ssaalwana nabo kubanga nali mukulembeze. Nalina obukadde 3,800,000/= nga ŋŋenda kusasula poloti yange. Bantwala ku poliisi y’e Nateete ne nsangawo O.C Lauben Wasiima ne bannyongerayo ku poliisi y’e Kibuye gye nnamala eddakiika ne bansiba okutuuka ku ssaawa nga musanvu okukola siteetimenti naye ng’ebintu bye banvunaana sibimanyi. Wano nasulawo olunaku lumu ne bannyongerayo e Makindye gye nnamala essabbiiti ebbiri ne bantwala mu kkooti gye nasanga abalala bayitirivu kyokka nga buli omu tanyega munne kubanga twali tetwemanyi. Baatuvunaana omusango gw’obutujju kyokka nga tetumanyi obutujju kye ki! Okuva awo natwalibwa e Luzira. Obulamu bw’ekkomera bunkaluubiridde nnyo kubanga nfuniddemu nnyo ebizibu; okusooka, olubuto lwange lwajjako amabwa era sikyasobola kulya bintu bikaluba so ng’enva zange ovakedo. Ekizibu kino kyava ku ndya embi eri mu kkomera. Twatulugunyizibwa nnyo nga tukwatibwa era abamu baatukuba nnyo nga baagala tukkirize omusango era ndowooza obulwadde buno nabuggya ku kukubwa wabula e Luzira tebaatukuba. Ensonga zaffe zonna twali twazikwasa Katonda era nze nalokokerayo kubanga nalangibwa bwemage okukwatibwa olwempalana z’abantu b’oku kyalo kyokka nabasonyiwa. Obulamu oluvannyuma lw’ekkomera si bwangu kubanga nasanga buli kye nnalina nga tekikyaliwo. Amaka gange gaasasika; omukyala nasanga bamututte, abaana bange tebasoma, sinnaba kufuna mulimu ate ndwadde. DEO WALUSIMBI |
