Untitled Document

Akulira akakiiko k’ebyettaka mu Kampala ayise aba Owino abakwase ekyapa kya liizi

Akulira akakiiko k’ebyettaka mu Kampala, munnamateeka Yusuf Nsibambi agambye nti ku bbalaza nga 28 lw’agenda okusisinkana abasuubuzi abakolera mu katale ka Owino abakwase ekyapa ne liizi yaabwe mu butongole, batandike okukeekulaakulanyiza.


Bino byonna biddiridde aba Owino okumalawo akagulumbo ke babadde nako mu bukulembeze bwabwe ne bakkiriza ab’ekiwayi ekikulemberwa Godfrey Kayongo ekya St. Balikuddembe Market Stalls and Lock up Shop Owners Association be baba bakwasibwa liizi y’ekyapa okukakulaakulanya.


 Nsibambi yategeezezza olupapula lwa Eddoboozi nti, “Tetulina nsonga yonna ku kibiina kyalondeddwa, ffe kye tubaagalamu kimu kyokka, kugondera ensonga ezibaweesezza ekyapa kya liizi eno. Kati abasuubuzi tugenda kubakwasa ebiwandiiko by’ekyapa kya liizi y’akatale kaabwe ku mmande.”


 Akatale kano kabadde kaludde nga kalimu emivuyo wakati w’ekibiina kya SLOA ekikulemberwa Kayongo n’ekya Cooperative ekikulemberwa John Baptist Kivumbi era nga ze zimu ku nsonga KCCA z’ebadde yeekwasa obutabawa liizi.


Ssentebe w’akakiiko k’ebyettaka, Yusuf Nsibambi olwamaze okusuuza Dayirekita wa Kampala, Jennifer Musisi liizi y’ekyapa n’awa abasuubuzi bano amagezi bakwatagane ne ssentebe w’eggombolola y’omukulu w’ekibuga, Godfrey Nyakana bamubuulire ku biwayi byombi gwe basazeewo okukwasa liizi.


“Tusembye aba SLOA nti be bagenda okuweebwa ekyapa kya liizi y’akatale kubanga tutunudde mu mpapula zaabwe nga tebalina mutawaana. Tukkaanyizza era twagala abasuubuzi bonna babeere bumu nga bwe balwanirira enkulaakulana ey’awamu,” Nyakana bwe yategeezezza Eddoboozi.


Kayongo bwe yatuukiriddwa eggulo yagambye nti yadde nga kye baali baagala bakituuseeko, tebagenda kuweera. Baagala Dayirekita wa Kampala, Jennifer Musisi abaddize ensimbi zaabwe ezisoba mu buwumbi 4 ze yabasoloozaako.


“Twagala Musisi atuwe ensimbi zaffe kubanga yalemereddwa okutuwa ekyapa. Akaseera kano tuli mu kusaba Mukama atulwanirireko kubanga omukyala oyo yafuuka muzibu,” Kayongo bwe yagambye.


BATTE LULE KIRWANA NE  MUKASA IVANIE MALE

Untitled Document
Essomeddwa Emilundi 206 206 Ebirowoozo 4 4
kibbi nyo, 22 - May - 2012 09:48
mbu museveni agambye ba rdc bataasa abagobwa ku mataka!!! abagoba abantu mu bibanja byabwe baamagye ba museveni, okugeza tumukunde aboonyabonyezza ennyo abantu be mpigi. abaamagye ba museveni ne tumukunde tebakomye kukugoba bantu ku bibanja byabwe naye bakwata abakazi, abuba abantu, n'okukola buli kikolobero kyonna ekisoboka. kino bakikoledde ebbanga ddene nnyo era ne ttivii za museveni zennyini (bukedde tv)neziraga amawulire gano nga amagye ge ne tumukunde bwetabonyaboonya abantu. kati ate ayasama alowooza nti tuli basiru. lwaki ggwe eyeyita commander in chief tosobola kufuga magye go, olwo ba rdc bebanagasobola? okwo kwebayita okwewuunza. 25 - May - 2012 09:46
m7 bwatyo ehnali simanyi nti bukedde tv ya m7, w'ama bitandise okweyoleka.
ha! bugada erabye nnyo.

calvin
25 - May - 2012 10:41
ura babba billions!!! kagina is one of the most incompetent human beings in the world. ndowooza mulaba ebya mwana w'ani kyebikola eggwanga lyaffe. museveni yawa kagina ekifo ekyo so nga waaliwo omuntu omulala eyali amanyi ekyokukola naye nga according to the laws governing museveni's principle of nepotism, that other person could not qualify. kati mu ura mulimu kino ekifaananyi ki kagina who has no clue as to what she is doing. so abaana ka babbe kubanga eyandibadde abaziga ebitabo babimuyisa ku litalaba ate era nga ddala tasobola kulaba kubanga nebwalaba tasobola kumanya. she is ignorant of how the process works. 27 - May - 2012 03:16

Ekirowoozo Kyo !

Omutwe
Ekirowoozo
A value is required.Minimum number of characters not met.
 

 

 

Untitled Document

Maapu