|
MASAKA Abavubuka ba NRM bagambye nti bagenda kugumba e Bukoto South awagenda okuddibwamu okulonda balwanyise Alintuma Nsambu eyeesimbyewo ku kkaadi y'ekibiina kyabwe kubanga akoze ebikolobero bingi ku Bwakabaka, nga takyagwanira kuwangula kalulu mu Buganda. Mu lukiiko lw'abaamawulire lwe baatuuzizza e Masaka, kayungirizi w'abavubuka ba NRM mu ggwanga, Ssewava Mukasa Joseph yagambye nti, "Alintuma Nsambu bw'aba alumirirwa ekibiina kya NRM ave mu kalulu ka Bukoto South kuba omuntu atassa kitiibwa mu Bwakabaka bwa Buganda tayinza kuwangulira NRM kalulu mu disitulikiti z'omu Buganda." Abavubuka basabye eyakulidde okulonda kw'akamyufu ka NRM, Pulofeesa Elijah Mushemeza aveeyo yeetonde olwemivuyo egyabadde mu kulonda kuno. "Abavubuka ba NRM tetusobola kukkiriza mulugube, obukumpanya, obubbi, obunnanfuusi, okugulirira n'okubuzaabuza abalonzi okuli mu bakulu ba NRM okusudde ekibiina kyaffe," Ssewava. Yalumirizza Nsambu nti yasombye abalonzi okuva mu Bukoto East gye yagwa n'abaleeta mu Bukoto South era nga ne ku lunaku lw'okulonda yeetegese okukola ekintu kye kimu. Abavubuka ba NRM bagamba nti, "Alintuma Nsambu bw'aba awulira ng'ayagala nnyo obubaka bwa palamenti, asabe Pulezidenti Museveni amutonderewo disitulikiti endala nga teri mu Buganda kuba tewali muntu ategeera era assa ekitiibwa mu Ssaabasajja Kabaka wa Buganda ayinza kuwa Alintuma Nsambu kalulu." Olupapula lwa Eddoboozi lwategeezeddwa nti abaaleese Nsambu mu Bukoto South bagenda bagamba abantu nti yagenze e Mengo ne yeetondera Katikkiro wa Buganda olwokuyisa olugaayu mu Bwakabaka n'okulengezza Ssaabasajja ate nga tannaba kugendayo. Okusunsulamu abagenda okwesimbawo mu kulonda kuno kutandika nkya ku lwokusatu, ng'ensiitaano esuubirwa kubeera wakati wa Mathias Nsubuga Birekerawo (DP) ne Alintuma Nsambu (NRM).
TOMUSANGE KAYINJA
|