Amawulire

KAMPALA
Abantu okwetooloola Kampala n'obubuga obulala, baakonkomalidde ku nguudo oluvannyuma lw'aba takisi okwekalakaasa ne bakweka emmotoka zaabwe nga bawakanya omusolo gwa KCCA.
Aba KCCA nga baayambibwako poliisi y'oku nguudo baazingizza enguudo zonna eziyingira mu Kampala nga takisi ezitannasasula zikwatibwa.
Abasaabaze abasinga mu bitundu bino baalinnye boda boda okutuuka ku mirimu. Ekikwekweto okusinziira ku bakulira KCCA kikyayinda.

KAMPALA
Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga ateekateeka okusisinkana eyaliko omumyuka wa Pulezidenti, Polof. Gilbert Bukenya ku Lwokusatu bateeseganye ku nsonga eziwerako omuli n'eya Bukenya okwesimbawo ku bwa Pulezidenti. Kyategeezeddwa nti ensisinkano yaakubeera Katomi okumpi n'e Ntebe.
Ensonda e Mengo zaategeezezza nti Bukenya eyamaze okutegeeza nga bw'aluubirira okwesimbawo avuganye ku ntebe y'obwapulezidenti, yabadde ateekateeka kusisinkana Kabaka ... 

MENGO
Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II alonze baminisita abalala basatu okujjuza ebimu ku bifo ebyasigalira mu nkyukakyuka ze yakoze mu kabinenti ye gye buvuddeko omuli n’ekyalimu minisita Florence Nakiwala Kiyingi.
Mu kiwandiiko ekitongole ekyafulumiziddwa omuwandiisi w’olukiiko ow’ekyama, Omukungu Peter Mpanga, Kabaka yalonze Muky. Ritah Namyalo Kisitu okubeera minisita omubeezi ow’ebyobulambuzi nga kino kye kyalimu Muky. N... 

BULANGE
Buganda ekukkulumidde gavumenti ya wakati olwokulemererwa okusasula ebbanja ly’egibanja erisussa obuwumbi 20 ate n’egaana okuliteeka mu mbalirira y’omwaka ogujja 2013/14 nga bw’ezze esuubiza.
Omwogezi wa Buganda era minisita wa kabinenti, Owek. Denis Walusimbi yagambye nti kyannaku nnyo nti gavumenti eyimiriddewo ku bulimba okutuuka n’okusuubiza Obwakabaka obulamba empewo.

MUBENDE
Ab’ekibiina ky’obwannakyewa ekirwanirira eddembe ly’abakyala mu maka ekya ‘Action Aid’ bagambye nti ebikolwa ebyobutabanguko mu maka n’obumenyi bw’amateeka bweyongedde ennyo mu disitulikiti y’e Mubende.
Akikulira e Mubende, Stellah Atunyo yategeezezza ng’afulumya alipoota ey’omwezi ogwokutaano, nti obutabanguko bweyongedde ebitundu 44 % nga muno mwe muli obuzzi bw’emisango om... 